Navigation Menu+

In the last days two kinds of Christ will come (English & written Luganda)

Posted on 11 Jan, 2022 in Guds ord, Guds rike, Profetia, Tro | 0 comments

MUNAKU EZ’OLUVANYUMA WALIJJA BA KRISTO BA MIRUNDI EBIRI

Myaka ebiriri egiyise,wenali mu lugendo bwetwali ku missoni mu’Africa,Mukama waffe yayogeera ne mwannyinaze Liliane nga amugamba nti:Mpulira enswagiiro.Mubere betegefu eri okukwakulibwa kw’omubanga,okunsisinkana nze.

YesuKristo akomawo mangu kunsi,ekyo kilungi okukitegeera era gge mazima ddala.Naye ate twetaga okujuukira nti baibuli eyogeera nti munaku ez’oluvanyuma,walijja ba Kristo ba mirundi ebiri:Kristo ow’obulimba ne Yesu kristo mukama waffe.Kino twetaaga okukijuukira.

Mubiiro bino,abamu ku basomesa ba baibuli bagamba nti:tetwetaga kwerarikilira ku bikwatagana ku kristo ow’obulimba,kubanga wa’lituukira tuliba twamalibwa dda okukwakulibwa akabanga kanene emabeega,nga n’okuyiganyizibwa okunene tekunaba kutuutukako.Naye abamu bagamba nti,tutekeddwa okuyitako mu kitundu kimu kya kubiri ku kuyiganyizibwa okunene.Era abasomesa ba baibuli abalala bagamba nti;nedda,tuliba tukyali wano akaseera kalijjiramu!tutekedwa okuyita mu bufuuzi bwa kristo ow’obulimba.

Nze buli bwe mpulira okusomesebwa,ngenda munsi nendaba obutufu bwakyo,era ekyo nkikoze,era ntekeddwa okwogeera n’obuwombefu nti simanyi kituffu dala,kubanga waliwo okuwagirwa kwa baibuli eri endowooza zino essatu.Naye ngenda kusomayo olunyiriri lumu oluggumiza dala enyo n’amanyi nti  tuliba tukyali wano.

2 Abasesoloniika 2:Naye tubeegayiyirira ab’oluganda, olw’okujja kwa mukama waffe Yesu Kriston n’olwokukungaana kwaffe gyali.Obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe,newankubadde Mu mataayo 24:Abayigilizwa babuuza mukama waffe :Bubonero ki obulilaga okukomawo kwo? Era manya kiki Kristo ky’ayogeera okusooka mu byona:Mwegendereze nti waleme kubawo abakyamya! Era Yesu ayogeera ku bu boneera obulilaga okukomawo kwe,nga,ebikankaano,etutuumu ly’entaalo,eggwanga lilitabaala eggwanga,era tulaba ebyo byonna olwaleero,naye mukama waffe ayogeera nti ekisinga mu byonna kwe kulimbibwa nga akaboneero akasinga okwesigika era akalaga okukomwa.

okweralikirira,newankubadde olw’omwoyo,newankubadde olw’ebaluwa ng’evude gye’tuli nti olunaku lwa mukama waffe lutuuse:omuntu yenna  takulimbanga kigambo kyona kyona:kubanga olunaku telulijja wabula ng’okwawukana kuli kumaze kubawo,era nga omuntu oli ow’okwonoona nga abikuliddwa,omwana w’okuzikirira,aziyiiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa katonda oba ekisinzibwa,n’okutuula n’atuula mu yeekaalu ya Katonda nga yeeraga yekka nti ye katonda.

Wensoma enyiriri zino,mpulira mu mutima gwange ne ku mwooyo nga dala omutuume Paulo bweyayogeera nti:walibaayo olunaku olulituuka,abantu bwebaligambira nti olunaku lwa mukama waffe lutuuse,baligamba nti “Yesu Kristo ali wano!”Era abantu baliduuka era nga banguyiriza, naye temulimbibwanga,nowankubadde oku’kankanyizibwanga mu kukiriza kwammwe,muyimiliire munyweere,kubanga olunaku lwa mukama waffe teluyinza kutuuka paka nga ow’obulimba atuuse. Nyinza okubeera omukyamu naye bwensoma ekyawandikibwa kino,bwentyo bwenkitegeera.

Singa ngamba nti,kubanga simatiziddwa ekikwatagana kwekyo,naye singa tukyali wano paka ku kujja kwa kristo ow’obulimba,nzikiriiza nti bangi nga balookole era nga ba batizibwa mu mwooyo omutukuuvu,era paka bali limbibwa oyo omulimba,era mpulidde nga Mukama waffe ayagadde njogere ku babiri bano,”ba kristo” abalikujja munaku ez’oluvanyuma,kristo ow’obulimba ne Kristo mukama waffe Yesu Kristo.

Mu Mataayo 24:Abayigilizwa babuza mukama waffe nti:Buboneero ki obulilaga okukomawo kwo?Era manya kiki Kristo kyayogeera okusooka mu byonna:mwegendereze nti waleme kubawoabakyamya!Era Yesu ayogeera ku buboneero obulilaga okukomawo kwe,nga,ebikankaano,etutuumu ly’entaalo,eggwanga lilitabala eggwanga,era tulaba ebyo byonna olwaleero.Naye mukama waffe ayogeera nti ekisinga mu byonna kwe kulimbibwa nga akaboneero akasinga okwesigiika era n’obunene akalaga okukomawo kwa kristo.Yesu yagamba nti ba nabbi b’obulimba nabatuume baligolookoka,balyoke bakole obuboneero obw’amanyi ne byewunyisa,wekiliba kisobooka bakyamye na balonde,n’ababatizibwa abatufu aba Yesu Kristo.Nolwekyo mujuukire nti kano ke kasera ok’okulimbibwa

Kale tusobola tutya okulaba abatuufu abagobereera Yesu n’abatali batuufu?Yesu nayogeera nti:Nze kitangala ky’ensi noyo angobereera talitambulira mu kizikiza,naye anaka’nga n’omusanaogw’obulamu{Yokaana 8:12}

Era mu Mataayo Yesu agamba nti:Mwe muli musana gw’ensi.Ekibuga wekikubibwa ku lusozi,tekiyinzika kukisibwa.So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo;wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo,nayo ebaakira bonna abali munju.

Bulamu ki obuli munda muffe obulyaka okuva muffe abalala balabileko. Yesu yakigamba nokigamba nti tekisobooka nakukwekebwa.

Wendaba abantu nga bagaala okuwereza mukama waffe Yesu kristo,abasajja ba katonda abamanyi nga David wilkerson oba Carter concon okuva mu America. Ndaba omusana n’ekitibwa mu maaso gabwe, era waliwo omusana, essanyu n’okwagaala mu maaso gabwe. Era bwempulira nga babulila, mpulira nga kisinzirira ku kigambo kya katonda. Era wendaba mu maaso gabwe, nze nange nzijuzibwa ebibala by’omwoyo, Nzijuzibwa essanyu, emirembe n’okwagaala gyebali, era nsikilizibwa gyebali ,era nemala nembawo n’omukisa, nandyagadde okubagwako mu kifuba, Kubanga  nsobobola okulaba n’okuwilira nti bajjuzidwa Yesu kristo era ba’mwagaala, naye okubeerawo mumanyi okw’omutukirivu Yesu kristo mu bbo kuyinza okundetera okutya, olwokubanga ndina okutya katonda munze.

Olwaleero mu’ America waliyo okusasanyizibwa kwa mawuulire kunji, abatume ne ba nabbi abamanyi, era bagenda mu maaso mu manyi ga manyi g’eggulu, bakola obubonero obw’amanyi n’ebyewunyisa, n’okuwonya era basikiriza abantu bangi okulokoka era n’omwoyo okujuzibwa abakiriza mu kristo eri amakanisa gabwe n’okusomesa kwabwe. Bawangudde nnyo era bagulumizidwa n’okutenderezebwa munsi yoona.

naye bwendaba mu maaso gabwe,temuli yadde omusana era temuli kitibwa kya katonda mu maaso gabwe.Kyoka nze ndaba ekizikiza n’obusirusiru,era bwembalaba sisikilizibwa gyebali,era mbera nzilukila eri obulamu bwange.

waliwo obubaka obumenya omutima n’okutabula tabula ememe obuyitibwa nti,”dukila eri obulamu bwo”obwabulirwa Carter Conlon weyagambira nti okuyita mu mwoyo omutukuvu,mudukire eri obulamu bwamwe buli bwe’mulaba abantu bano era muwulire okusomesa kwabwe!

Era buli bwemulaba nga babulira,nsoboola okukitegerera dala nti eno enjiri siyemu nga omutuume Paulo gye yabulira,yee,tebadamu ebimu ku byawandikibwa nga bwebili mu baibuli,naye tebabulira kigambo kya mukama mu bujjuvu bwakyo,naye wabula ebyo ebintu ebiwagira okusomesa kwabwe okupyaa n’ennono era babikola olw’okwekusa boka naboka.

Nkukakasa nti kino sikyakusaga kubanga banji kubasajja bano abatume ab’amannyi babulira nga bagamba nti Yesu teyazalibwa nga omwana wa katonda, naye omusajja owabulijjo, afanana nga ggwe nange, yazilibwa omulundi ogwo kubiri era nabatizibwa mu mwoyo omutukuvu. Byebyo byebasomesa, Naye owange, yo ensi egamba ki?

Nga bwekiri mu 2Yokaana 7:Abalimba bangi bagenze munsi, nga tebayatula Yesu Kristo nga bw’akomawo mu’mubiri ,Ono mulimba, era Kristo ow’obulimba.

Mugeri yemi; Omuntu yenna bweyegana yesu nti siye’mununuzi, omwana wa katonda, oyo azze munsi mukifananyi ky’omuntu, atali kwogeera okuyita mu mwoyo mutukuvu, naye mu mwoyo owa kristo ow’obulimba, bwekityo ekigambo wekyogeera:

Ne mu yokaana ekisooko esula eyokuna agamba ekintu kyekimu: nti buli bwewegaana Yesu Kristo nti siyemwana wa’Katonda eyasindikibwa kunsi mu’kifananyi ky’omuntu, simwoyo wa mukama,wabula mwoyo wa Kristo ow’obulimba. Omwoyo wa Kristo ow’obulimba olwaleero ali wakati mu kanisa ya Yesu Kristo. mukupiima okw’amanyi, era ekyennyamiiza okwogeera nti ayagalwa era atendereezedwa abakirizaba Kristo bangi, kyamazzima, bwekityo ekigambo kya mukama bwekyogeera, ekyeeru ku kiddugavu.

Njogeera bino mu kwagaara era n’ennaku, naye ndabye amaaso mangi aga balookole abakiiririza mu Kristo, nga babaatizibwa mu mwoyo omutukuvu, era nga amaaso gabwe gali gajuula okwagaara n’essanyu, naye oluvanyuma lw’emyaka mitono nga bamaze okuwulila okuva era abatume Paul bweyandibade abayiita, amaaso gabwe gaddugala era basiiruwala. Essanyu, okwagaara nekitangala byabavamu! Ddala mbagamba nti ababuliizi bangi abali bwebati olwaleero era nkukakasa nti  kuno sikusaaga.Temulimbibwanga! Abatuume ne Yesu Kritso mwenyini bweyayogeera ku kaseera kokujja kwe.

Bwemutegeeranga ddala ekyo kyejogeerako, noyo gwenjogeerako Olwaleero, mwebazenga Yesu kulweekyo, kubanga muwereddwa ekirabo eky’okokutegeera Okw’eggulu okuyinza okununula ememe n’obulamu bwa’mmwe, sinakindi nobwa balala, bwebaba nga babawuliriiza.Naye bwemutategeeranga,mwebuzenga ku katonda nga muli mukusaaba, bwemuba nga muzzeyo e’wakka: Yesu, bantu kika ki abo bewayogeerako mu mataayo 7:15-2 ne mu mataayo24? Ani oyo Konfad gweyali ayogeerako olwaleero? Nyamba ombikuliire amazama amatuffu! Mpa okuteegera okw’eggulu, Nyamba!buli bwosaba mungeri nga eyo nomutima gwo gwonna, Ndina Okukiriiza okujuuvu nti Yesu Kristo ajja kukudamu essala gy’osabye.

Omwoyo wa Kristo ow’obulimba ali mukaniisa olwaleera, naye Kristo ow’obulimba tanaba kutuuka kunsi, newankubadde Yesu Kristo okukomawo, naye okujja kwabwe bombiliri kusembede. Kale okujja kwabwe kulilabika kutya?

Omutume Pauloyawandika nti;okujja kw’oyo atalina mateeka kusinzirila kun kola za sitani,n’amany gonna,obuboneero,n’ebyewunyiisa eby’obulimba,era n’okulimbibwa okutali kwa butuukirivu.

Kristo ow’obulimba agenda kujjira mu buyinza obw’olukake n’obuyinza obunene,agenda kukola obuboneero obw’amanyi,n’ebyewunyo,n’okuwonya,n’ebyamageero,era waliwo obulabe bunji mwekyo;yee,buli enjiiri bwe bulilwa mu mafuta g’omwoyo mutuukuvu,mukama waffe Yesu Kristo asoboola okukola ebinene n’ebintu ebyewunyisa,nga dala bweyakola mu kaniisa eyasokela dala kubanga Yesu Kristo asigala omu oyo olw’eggulo,olwaleero n’ebiseera byonna.naye temwerabila nti tulina omulabe w’omwoyo eyali malaika omukulu era nga alina amanyi mangi era asobolera dala naye okukola naye okukola ebifanana bwebityo.Mujuukile nti abafuusa mu Misiri bali bakopeerera ebyamanyi bingi katonda byeyakola okuyita mu Musa.Tetuyinza kusalawo nti oba omwooyo omutuukuvu yakola  nga tusinzirira ku mannyi ag’enjawulo,ebyamageero n’ebyewunyisa.

Naye waliwo ekintu kimu omulabe kyataliyinza kumaliliza;ebirabo eby’omwooyo ebiri  mu muntu!Yesu yagamba nti tulibamanyila ku bibala byabwe.Naye yesu bweyayogeera ku bibala ebirungi:Yategeeza ebibala eby’omwooyo!Ebibala sibwe buboneero ,ebyewuunyisa,obunabbi obungi,ebibina by’abantu abangi abakuba mu ngaalo,nedda,Yesu yayogeera ku bibala bya mwooyo.Tunuula mu maaso gabbwe ne kuneyiisa yabwe;Olaba era n’owuliira okwagala,essanyu n’emirembe,obuguminkiliza,obulungi n’obuwombefu?Woba tobilaba,waliwo obulabe bungi era waliwo ekikyamu.

Eranzikiriza nti kristo ow’obulimba aligolokoka okuva mu buvuyo,obutawumula,okutya okusasanyizidwa munsi yonna munaku ez’oluvanyuma.So buli bwolaba ebyo byonna nga bisasanye munsi yonna,oluvanyuma newabawo atuuka nga aleeta amateeka n’ebiragiro,nga,nga akola ebyewunyisa,ayogeera ku kwagala,emirembe n’obumu,jja okugatta ensi yonna mu by’obufuuzi,mu byenfuuna ne munzikiliza,omuntu aligatta amadini gonna munsi yonna agamba nti bonna balina katonda y’omu.Awo osoboola okuteera omukakafu nti oyo   ye kristo ow’obulimba.

Nzikiriza nti abantu bangi balyogeera nti;Naye labayo ebibala bye ebilungi,nti aleese emirembe,akola obuboneero obw’amanyi n’ebyewunyisa,okukunganya ebibina ebinene era nga buli muntu amwagaara ntino atekedwa okubeera omusajja wa katonda,sinakindi nga ye Yesu Kristo mwenyini nga y’akomyewo kunsi!Naye amwefaanyiliza bwefaanyiliza!Temulimbibwanga!

So tusobola tutya obutalimbibwa muntu oyo?Paulo awandiika nti Kristo ow’obulimba ajja n’obutali butuukirivu bwonna n’obulimba eri abo abazikirira nti kubanga tebafuuna kwagaala kwe okutufu,nti era basobole okulokolebwa.Era kulw’ensonga eno katonda ali sindiika okukiriiza okunywevu okukontana n’amazima nti basobole okukiriza obulimba.

Jukira nti ye katonda,so si sitani nti yasindiika okukiriiza kw’obulimba eri abantu bano.Mukama waffe Yesu,Katonda waffe ye munene era asalaawo ne kubino ebintu.

Era engeri esinga eyobutasoboola kulimbibwa kristo ow’obulimba oba abatuume ne ba nabbi ab’obulimba kwe kwagala amazima,era olokolebwe nga omutuume Paulo bwe’yandiika.Yagala amazima,okwagala era okutegeera era okutegeera obulungi Yesu Kristo,okutambula nga osemberera gyali,n’okuwulira eddobozi lye n’okunonya ebibala eby’omwooyo munze ne mubalala.

Munze okukula,kubanga nze bwentambula ne Yesu kristo,ebibala eby’omwooyo bilikuladdala ku ddala.Singa ntandiika okutambulira mungeri enkyamu nga mpulira okubulira okukyamu,n’abatuume ab’obulimba,mubwangu oba oluvanyuma ebibala eby’omwooyo bigenda kukendela munze.

Naye bwempulira Yesu ,buli bwempuliira okubulia okutuufu,ngenda kulaba era mpulire nti neyongeera yongeera okujuuzibwa essanyu,okwagala,ekisa n’emirembe.Yee kino kiyinza okulekera awo okukula oba okukendera singa mbera n’okuyitako mu bumu ku bulwade,oba singa omwagalwa wange aba afudde,naye era, bwe ntunuulira akaseera akawanvu,nzikiriza nti kugenda kukula.

Teeka Yesu mu masekati g’obulamu bwo,ne mubiroowozo byo,awo tolilimbibwa .Yagala Yesu ,Yagala ekigambo kye,kisome,kisukulumye,saba omwooyo omutuukuvu akulungamye mu kukisoma:Bwatyo – Yesu   bwayayogeera;Musabe,muliwebwa!So saba Yesu ateeke enjala ye kigambo kye munda mugwe,Saba yesu akuweokwagala kwe okungi,musabe akuwe okusalawo okulungi,saba Yesu ateeke enjala y’ekigambo kye munda mugwe,saba yesu akuwe okwagala kwa bantu bonna,era agenda kubikuwa!

Naye Yesu Kristo akomawo mangu,kino kitegerekeka mangu nnyo ,era nze ndina ekintu kyempita nti “enfuuga ey’empungu.”

Bwemba ewabweru nga nevugamu mu mbeera y’omusana,njagala nyo okutunuulira ebinyonyi mubanga,era bwendaba ebinyonyi ebinene bino ebirya ennyama,nebuuza oba eyo mpungu?Lwaki?Kubanga njagala nyo empungu kubanga zilabika bulungi era tezimala galabika,so, oba oyayana okugilaba.Naye ekiyize nti singa ekyo kiba kibuuzo,”eyo mpungu?”naye nga si mpungu.Kubanga bwolaba empunguentufu ,ebeera nnene,nga nnungi okuzama,nga yamanyi nyo nti ogimanyilawo n’omutima gwo gwonna nti;Eyo mpungu!

Era ekinyu kye kimu n’okukomawo kwa Yesu Kristo.Webangaayo omuntu yenna abantu gwebagamba nti oyo ye musajja wa katonda owamanyi.Era nzikiriza nti bantu bangi baligamba nti oyo ye Yesu Kristo akomyewo kunsi,naye nga waliwo okubusabusa okutono ennyo munda mu mutima gwo,awo dala nkugamba nti oyo talibera Yesu Kristo!

Kubanga Yesu Kristo bwalikomawo,walibawo ekintu ekyewunyisa ennyo kyotayinza kutegeera,era tewalibawo muntu yenna kunsi kuno ali kigana nowankubade okukibusabusa.Ono Yesu Kristo ,mukama waffe yaliba akomyewo.

Kubanga akasera kano,Yesu takomawo nga aviridde kunsi,Yesu akomawo nga aviridde mu ggulu.Okubikkulirwa kwogeera nti:Labba,akomawo n’ebire,era buli riiso lyona lirimulaba,akomawo ,kilbeera kyelufu,so nga kyeraga lwattu,so tewalibawo muntu yenna akiwakanya.Era takomawo yekka!Yesu akomawo ne ba’malaika bonna ab’amanyi abali mu ggulu

Kyawandiikibwa mu kubikkulirwa nti:Nendaba eggulu nga libikkuse,era laba ,embalaasi enjeru neyali agituddeko,ayitibwa mwesigwa era ow’amazima,yayambazibwa mu munagiro ogwanyikibwa mu musayi,era ayitibwa erinya lye “ekigambo kya katonda,”era n’amajje go muggulu agayambazidwa bafuta entukuuvuennungi,enjeeru era etukula,negamugoberera ku mbalaasi enjeeru.Era Yesu yalina erinya erinnya nga liwandikidwa ku munagiro gwe,ne ku bisambi bye;”Kabaka wa ba’kabaka era mukama wa bakama.”

Era Yesu alilwanagana ne balabe be,era alibawangula mubwangu,naye abagobeerezi ba Kristo baliba bayimilidde mu kujaguza obuwanguzi,okulokolebwa ku lw’ekisa kya katonda!Era fenna twagala okubeera aba Kisto owa dala,oyo atuwa obuwanguzi ku lw’ekisa!Era nzikiriza nti kino tekituli wala.

So,muguminkilize eri Yesu kristo owadala.Temukyamizibwa ba nabbi n’abatuume obobulimba.Musigale mu kigambo ekya Katonda.Munonye ebibala eby’omwooyo ,era wemunakola ebyo,mujja kuyimilira mu buwanguuzi,mulokolebwe era mubeere n’omukisa emirembe gyonna nga Yesu akomyewo,AMINA.

Submit a Comment

Your email address will not be published.

Translate »